Abatuuze ku kyalo Kilumba mu gombolola ye Katwe Butego mu disitulikiti ye masaka bali mu kutya oluvanyuma lw’okulumbibwa engo .
Okusinziira ku batuuze engo eno ebamalidde ebisolo nga ambizzi, embuzi wamu n’enkoko nga era omu ku bakoseddwa Peter Ssembabtya agamba yakafiirwa embizzi 5 mu nnaku 2 eziyise.
Agamba ennaku zino babadde basula bakuuma biyumba bya mbizzi zaabwe…
