File Photo: Mbabazi ngali nabawagizibe
Nga kampeyini z’abesimbyewo ku bwapulezidenti zitandise mu butongole amakya galeero, ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Eng Badru Kiggundu azzemu okulabula abesimbyewo obutagezako kukozesa bubinja bwabakubi ba miggo kutiisatiisa bantu.
Kiggundu agamba kampeyini sizakusfiirawo kale nga zirina kubeera za mirembe.
Agamba eby’okwerinda birina kukolebwako bitongole bikuuma ddembe ebitongole mu ggwanga.
