File Photo: Akulira Akakiiko ke byo kulonda
Eyali ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi awandikidde akakiiko k’ebyokulonda nga akategeeza nga bweyalonze ekifananyi kya ngaali abuuka nga akabonero k’agenda okukozesa mu kampeyini.
Kino kiddiridde ensisinkano eyabaddewo wakati wa Mbabazi n’akola nga ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Joseph Biribonwa nebannamateeka b’akakiiko.
Mbabazi era asabye akakiiko k’ebyokulonda okukozesa langi y’akacungwa mu kampeyini ze.