Eyali ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi aweze obutapondooka ku nteekateekaze ez’okwebuuza ku balonzi be.
Olunaku lw’eggulo Mbabazi yakwatiddwa poliisi ku lutindo lw’e Njeru nga ayolekera e Mbale mu kwebbuuzakwe okwabadde kusooka era n’aggalirwa ku poliisi ye Kiira okumala esaawa eziwerako.
Nga ayogerako nebannamawulire nga yakayimbulwa , Mbabazi y’ategezezza nga bw’agenda okuwandiikira akakiiko k’ebyokulonda nga akyuusa mu nteekatekaze.
Wabula Mbabazi…