Abakulembeze b’ekibiina kya NRM basambazze ebigambibwa nti bateeseza ku ky’okwongeza emisaala gy’ababaka ba palamenti mu lusirika lw’e Kyankwanzi.
Amyuka omwogezi w’akabondo k’ababaka b’ekibiina kya NRM Denis Obuwa agamba baabadde bateesa ku nsonga za kibiina nga tebalina budde bwabino ebibungesebwa.
Agamba okwongeza ababaka emisaala tebasobola kuisalawo nga bakibiina bokka wabula ababaka ba palamenti bonna nga ne ssentebe w’ekibiina…
