Minisitule y’ebyobulamu ebakanye ne kawefube w’okugema abantu be Masaka omusujja gw'enkaka.
Abantu 5 bebakafa omusujja guno nga abalala bakyabalondoola okulaba nga tebasiiga balala.
Minisita omubeezi avunanyizibwa ku bujanjabi obusokerwako Sarah Opendi agamba kino kigendereddwamu kumalawo bulwadde buno mu kitundu.
Kati Opendi alabudde abo bonna abalina enteekateeka z’okufuluma egwanga okusooka okugemebwa okwewala okutataganyizibwa.