File Photo: Olugudo lwa Entebbe express highway
Akakiiko akanonyereza ku mivuyo mu kitongole ky’ebyenguudo kalagidde abantu basatu abaliyirirwa mu kuzimba oluguudo lwa Entebeb Express Highway oluyita mu ttaka lyabwe bakeberebwe endaga butonde mu nkola ya DNA.
Muhammed Kamoga, Hussain Mugumya ne Richard Ssempagala bonna abatuuze be Nakigalala bategezezza akakiiko nti tebajjukira linya lya jajjabwe sso nga balina…