File Photo: Abakiise mu Lukiiko lwa East Africa
Olukiiko olugatta amawanga ga East Africa lulaze okutya olw’endoliito mu kusubulagana sukaali wakati wa Uganda ne Kenya.
Kino kijidde mu kiseera nga waliwo bannabyabufuzi abaagala okulinya eggere mu ndagaano eyatekebwako emikono omukulembze w’eggwanga lya Kenya Uhuru Kenyatta n’owa Uganda Yoweri Museveni okukkiriza sukaali wa Uganda okutundibwa e Kenya.
Omu ku…