Palamenti eragidde minisita omubeezi ow’ensonga za tekinologiya Nyombi Thembo aveeyo n’okunyonyola ku nteekateeka y’okusesetuka okuva ku nkola ya analog okudda ku digito nga muno tv z’abantu abamu zagyiddwako dda.
Omukubiriza w’olukiiko lw’eggwanga olukulu Rebecca Kadaga y’awadde ekiragiro kino oluvanyuma lw’abamu ku babaka ba palamenti okwemulugunya nti minisitule eno yapapye okugyako TV zabannayuganda nga tebatunulidde banaku abatasobola…
