Eyali omukwanaganya w’ebitongole ebikessi mu ggwanga Gen. David Sejusa aweze obutapondooka ku njiri y’enkyukakyuka mu ggwanga.
Sejusa okwogera bino y’abadde ayimiriddeko mu katawuni ke Kyabi weyategerezza nga gavumenti eriko kati bweri enkoowu kale nga bannayuganda basaana okugiggyako nga bayita mu kulonda.
Gen.Sejusa era y’alabudde omukulembeze w’eggwanga ku by’okutulugunya abamuvuganya kubanga ddembe lyabuli munnayuganda okwesimbawo ku kifo ky’ebyobufuzi…
