Amawulire
Abateberezebwa okutta ab’e kaseese munaana bewadeyo.
E kasese abantu munaana abaagambibwa okwenyigira mubulumbaganyi obw’akolebwa mu district zino esatu okuli Ntoroko, Bundibugyo ne kasese beewadewo mu mikono gy’ab’obuyinza kyeyagalire
Omwogezi w’amagye mu bitundu bya Rwenzori Lt. Ninsiima Rwemijuma ,atubuulide nti bano tebazze nakyakulwanyissa kyona, wabula nga mpaawo abakase.
Bino webigidde nga omukulembeze we gwanga Yoweri Museveni kyagye ategeeze nga abakulu b’ebyalo bwebalina obuyinza obusonyiwa abagambibwa okukola obulumbaganyi buno.
Yye ssentebe wa district ye kasese Lt. Col. Mawa Muhindo , atubuulide nti abeewayo batwalibwa munkambi okusobola okubabudabuda,nga eno esangibnwa ku kitebe kya district ye kasese.