Ebyobulamu

Siirimu wakukendeera

Ali Mivule

July 17th, 2014

No comments

HIV vaccine

Essuubi litandise okulabikako nti obulwadde bwa mukenenya buggya kuba bukkakkanyiziddwa omwaka 2030 wegunaatuukira

Bino biri mu alipoota eyafulumiziddwa ekibiina ky’amawanga amagatte ekikola ku bulwadde bwa mukenenya

Alipoota eraga nti omuwendo gw’abantu abafuna obulwadde bwa Mukenya n’abafa guzze gukendeera

Wabula ekibiina kino kigamba nti kino ssikyakujjira ku mukeeka nga kyetaaga kukola nnyo okulaba nti kituukirira n’obutaddirira.

Wabula kkyo ekibiina kya Medecins Sans Frontieres kirabudde nti wakyaliwo obuzibu mu kutuusa ku bantu eddagala

Alipoota eno yalaze nti abantu obukadde 35 beebalina obulwadde bwa mukenenya.