Ebyobulamu
Dembe egabudde ba maama
Kati nga tusemberera olunaku lwa Eid, abantu abasinga tebagyesunga olw’embeera yaabwe ey’obulamu eteyagaza.
Bangi baafuuka balunumma nga era tebalina ssuubi.
Mu kino 90.4 Dembe Fm , abakozi b’engato aba BATA wamu ne Hotel Africana basazeewo okuddukirira ba maama n’okusingira ddala abasulirira okuzaala n’ebintu ebikozesebwa mu bulamu bwabulijji mu ddwaliro lya Komambogo health Centre 3.
Akulira ebigenda ku mpewo Moses Katongole agamba baakizuula nga bamaama bano bwebayita mu bugubi obw’ekitalo naddala abo abasubira okusumulukuka essaawa yonna.