Amawulire

Omupoliisi akubye omuntu essasi

Ali Mivule

July 21st, 2014

No comments

police patrols

Poliisi e Kalangala ekutte basajja baayo babiri abagambibwa okutta omuntu atalina musango

Bino bibadde ku kyaalo Buswa e Bujumba ku bizinga bye Kalangala.

Owa bodaboda y’asoose okuloopa nti bamubbyeeko piki era poliisi mu kukwata abateberezebwa okubeera ababbi ekubye amasasi mu bbanga okukkakka ng’esse salumaanya.

Aduumira poliisi ye Kalangala, Samuel Mission agamba nti omugenzi etegerekese nga Emanuel Munono, ate nga ofiisa eyakubye essasi ategerekese nga Sam Okwech.

Abapoliisi abakubiddwa amasasi abagambibwa okubeera abazigu e Masindi bakyanyiga biwundu mu ddwaliro e Mulago.

OC Lawrence Omala ne Constable Deo Byabazaire nga babadde bakolera ku poliisi ye Bujenje bagamba nti abazigu bano babadde balina emmundu esukka mu emu ate nga bamanyi okuzikozesa

Afande Lawrence Omala essasi lyamukubiddwa ku luba ate yye omulala bamukubye mu kifuba

Ababiri bano bakyajjanjabwa ate ng’omuyiggo gw’abazigu bano gukyagenda mu maaso.