Amawulire
Basaddaase Omwana
Poliisi e Buikwe eriko abasawo b’ekinansi 2 bekutte ku bigambibwa nti baasaddaase omwana.
John Kisawuzi ne Ben Ssekamwa kigambibwa nti nga 14 omwezi guno baawamba Jimmy Luyinda ow’emyaka 17 nga mutabani wa Ssango Luyinda omuvuzi wa bodaboda ku kyaalo Luleega nebamusaddaaka.
Oluvanyuma omulambo gw’omwana ono gwaasuliddwa mu kasiko kumpi n’amaka ga jajjawe gwabadde abeera naye Tereeza Namutebi nga gusaliddwako ebitundu by’ekyaama n’omukono gwaddyo .
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bino Lameck Kigozi agamba bano essaawa yonna bakutwalibwa mu kkooti bavunanibwe nga n’okunonyereza bwekukyagenda maaso.