Akakiiko k’ebyokulonda kakalambidde nekategeeza nga bwewatali Muntu agenda kukkirizibwa kukuba nkungaana , okujjako ng’amaze okukakasibwa.
Bino byogeddwa akulira akakiiko k’eby’okulonda Eng Badru Kiggundu bw’abadde awayaamu n’abagenda okuvuganya ku bwa pulezidenti ku kitebe ky’ekibiina kino.
Kiggundu agambye nti abeesimbyewo baakima bukimi mpapula eziraga nti bagenda kuvuganya kale nga mpaawo yaabakakasizza.
Ono agamba nti etteeka erifuga okulondebwa kw’omukulembeze w’eggwanga terimanyi muntu abeera akimye mpappula nga tanakomyawo mikono gy’abantu abamusemba, kale nga bonna ababuna eggwanga beetaga basooke bakkakkane okutuusa nga bakakasiddwa akakiiko k’ebyokulonda.
Kiggundu agambye nti bano kyebaliko tebakiyita kakuyege, wabula okwebuuza ku balonzi, kale nga okugaba ebipande n’okusaba obululu kimenya mateeka.
Yye munnamateeka wa Mbabazi Fred Muwema agambye nti etteeka erisomeddwa Kiggundu teryogera ku bantu bameka abalina okubeera mu nkungaana z’okwebuuza, kale nga kimenya mateeka okulowooza nti enkungaana ziba zakusaba bululu, sso ssi kwebuza.
Mu ngeri yeemu twogeddeko n’abamu ku begwanyiza entebe eno abalala nebatubuulira ensonga zaabwe.
Wabula yye ssabawolereza wa gavumenti Fred Ruhindi agambye nti kituufu ekigambo kwebuza ku balonzi tekyalambululwa mu ssemateeka, nga kwogasse n’okupima abantu abalina okubeerawo mu kwebuuza, wabula nga kimanyiddwa nti okwebuza kubeera wakati w’omuntu ayeebuza, n’abantu abatono abalondemu.
Mu balala aboogedde kubaddeko ssabapoliisi wa Uganda Gen Kale Kaihura, nga ono agambye nti poliisi tetawaanyanga ku Mbabazi bweyali tanava ku mulamwa okutuuka jjo lya balamu lweyadda mu kukuba enkungaana.
Bino byonna nga bikyagenda mumaaso, tutegeezeddwa nti yyo poliisi emaze okusalawo nti siyakukkiriza Mbabazi okubaako lukungana lwonna lw’akuba okuva na leero.
Bino bizze nga Mbabazi yakalangirira nga bw’agenda e Gulu, Arua ne Lira mu kwebuuza ku bantu.
Ayogerera poliisi ya Uganda Fred Enanga asinzidde Naguru ku kitebe kya poliisi n’agamba nti bakizudde nga Mbabazi okwebuza ku bantu bw’akufudde enkungaana, sso nga sizeyasaba, kale nga tebayinza kukigumikiriza