Amawulire

Temuvunaana bayamba bali mu buzibu- Redcross

Ali Mivule

July 30th, 2014

No comments

Redcross responds

Ekibiina ekiddukirize ekya Uganda Red Cross Society kyagaala palamenti ereete etteeka eriwa abantu ebbeetu okuyamba abo ababa bakoseddwa mu bubenje

Mu kadde kano, abantu beesamba okuyamba banaabwe beebasanga mu buzibu olw’ensonga nti gwebasangawo atera okukwatibwa okuwa obujuliz

Aba Redcross bagamba nti kino kigaana abantu bangi okuyamba banaabwe nga bewala okuvunaanibwa

Atwala olukiiko olufuzi oluddukanya ekibiina kino Stephen Tashobya agamba nti palamenti y’erina okukirambika obulungi nti abayamba baleme kuvunaanibwa, obulamu bwebuba nga bwakutaasibwa

Yye omubaka Chris Baryomunsi,ne Sipiika Kadaga basabye ababaka mu palamenti okuwagira etteeka lya Goodsamaritan law nayo nga litunuulidde kutumbula obuyambi eri abalina obwetaavu.

Bino bizze ng’ekibiina kino ekya Redcross kikuza emyaka 50 bukyanga kitandika okukola mu Uganda