Amawulire
Olukiiko mu ndeeba luzzeemu katemba
Olukiiko oluyitiddwa omubaka akiikirira abantu be Lubaga mu bukiikakkono John Ken Lukyamuzi luzzeemu katemba, abantu bwebamwefulidde
Abalonzi bano babuuzizza Lukyamuzi gyeyali nga babamenya kyokka ng’ate bano bakwataganye n’abawagizi ba Lukyamuzi olutalo lw’ebigambo nelutandika
Lukyamuzi wabula agambye nti abategese abantu abakoze effujjo abamanyi nga beebo abagaala okumwesimbako mu mwaka 2016
Ono wabula aweze nti tewali kigenda kumujja ku mulamwa kulwanirira bantu beebasengula ku ttaka nga tebasasuddwa
Olukiiko luno lubadde luyitiddwa kukubaganya birowoozo ku ky’okukolera abantu abasengulwa okuva ku ttaka ly’eggali y’omukka