Ebyobusuubuzi
Amafuta amatabule
Abatunda amafuta amatabule ku luno bubakeredde
Okusinziira ku mateeka amapya, omuntu yenna anasangibwa n’amafuta amatabule wakusasula ebitundu 10 ku kikumi z’emaali ye
Akulira ekitongole ekikola ku mutindo gw’ebintu Ben Manyindo agamba nti olw’amaanyi gebayongera ku nsalo, kati amafuta bagatabulira mu kkubo nga gali mu Uganda
Manyindo agamba nti kati bagenda kutalaaga eggwanga lyonna nga beetegereza amafuta agatundibwa okulaba nti tegabeera makyaamu