Amawulire
Embeera ezze mu nteeko e Bwebajja
Kyaddaaki e Bwebajja abantu batandisse okudda mu maka gaabwe.
Kino kidiridde ekibinja ky’abatamanyangamba okulumba nebatematema abantu ku byalo bibiri okuli Bwebajja ne Dewe wiiki ewedde.
Kinajukirwa nti abanyazi abaalina n’amajambiya baalumba ebyalo bino nebatematema abantu abasukka mu 30, era nga mukaseera kano omuntu omu yeyakafa , sso nga abalala abakyali mu malwaliro.
Ssentebe w’ekyalo ekya KKB Daniel kyewalyanga agambye nti okunoonyereza,mukaseera kano kukyagenda mumaaso, wabula nga mpaawo yaakwatidwa.