Amawulire

Okubala abantu kutandise- Museveni abaliddwa

Ali Mivule

August 28th, 2014

No comments

Census is here

Wetwogerera nga kubala abantu kusaasanidde eggwanga lyonna, era nga enteekateeka zonna zigenda bukwakku mu buli kasonda ka ggwanga.

Pulezidenti Museveni y’asoose okubalibwa

Mu bitundu ebye Busoga , mu disitulikiti ye Kamuli okubala abantu kutandikidde mu lubiri lwa kyabazinga omuggya e Gabula.

Twogedeko ne sentebe wa disitulikiti eno Matia Lwanga Bwanika n’atutegeeza nti abantu bajumbidde okubalibwa, era nga mpaawo y’emulugunyizza.

Wabula ono asabye abantu okubeera abakkakkamu naddala ababala gyebatanatuuka, kubanga obudde bukyaliyo.

Yyo e Mbale nayo okuwandisa abantu kubunye wonna,

Eno twogedeko Nomubaka wa presiden mukitundu kino Shaban Kashimate natubulira ekiriyo.

Ate mu kitongole kya bannamakolero  nayo okubala abantu tekutalizza basibe , era nga luzira tutegeezeddwa nti nayo okubala abantu kugenda mu maaso.

Ayogerera ekitongole ky’amakomera Frank Baine atubuulide nti kakeerera kumpi  abasibe ebitundu 40 ku kikumi  bamaze okubalibwa

Ku ludda olulala abatwala ediini y’obuyisiraamu bakyalina  ebibuuzo oba okubala abantu kwakuyamba mu kutumbula eby’enkulakuna

Amyuka Supreme Mufti kuludda olwa Kibuli Sheikh Mohamed Kibaate  agambye nti bw’otunuulira okubala abantu okwasooka , kitono ekyavaamu , kale nga ku luno bandyetaaga okunyonyol okumala

Kibaate  agamba nti ku luno ebigenda okuva mu kubala abantu bisaana bikozebwe bulungi okusobola okukulakulanya abantu naddala mu byaalo