Amawulire
KCCA etabukidde abamenya amateeka, ab’enviiri basibiddwa
Abasajja bibiri abasuula kasaasiro mu luguudo batanziddwa emitwalo 90 buli omu.
Francis Mukiibi nga mukungaanya wa Kasasiro ne Moses Mugula nga bonna babeera Bakuli basimbiddwa mu maaso ka kkooti ya Cityhall ebasalidde ekibonerezo.
Ababiri bano baggulwaako misango gyakufuuna byeneena n’okujamawaza ekibuga
Okuvaako era mu kkooti yeemu, omukyala w’emyaka asatu asibiddwa wiiki ssatu lwakuyingirira ddembe lya balala.
Prossy Namutebi naye abadde mu maaso g’omulamuzi Moses Nabenda n’akkiriza emisango
Oludda oluwaabi lugamba nti Namutebi yayimirira ku ;luguudo n’ayita abakyala bayingire mu saluuni ye ekintu ekimenya amateeka
Omulamuzi asabye abakyala bonna abagaala ba kasitoma okubalindira mu ma saluuni gaabwe mu kifo ky’okwesimba ku nguudo.