Amawulire
Kidandala ayogedde, ba Kansala bali mabega we
Amyuka loodimeeya w’ekibug Sulaiman Kidandala awakanyizza ebigambibwa nti ayagala kusigukulula mukama we
Kidandala era avumiridde engeri Erias Lukwago gyeyamugobyeemu ku bwa loodimeeya
Kidandala agambye nti ky’aliko mu kadde kano kwekutaasa ofiisi ye ng’ayita mu mateeka n’okuteesa
Lukwago yagoba Kidandala ssabiiti ewedde ng’alanga kumuyita mabega n’akukuta ne NRM
Bbo nno na bakansala mu KCCA bagamba nti tebajja kukkiriza byakoleddwa Lukwago kubanga ali wabweru wa mateeka.
Ba kansala bano abakulembeddwaamu Godfrey Asiimwe bagamba nti beebalina obuyinza obugoba Kidandala sso ssi loodimeeya
Ssabbiiti ewedde Lukwago yagoba omumyuka we Sulaiman kidandala ng’amulanga kumuyita mabega n’akukuta ne NRM okudda mu kifo kye.