Skip to content Skip to footer

Rugunda asunsulwa leero

Rugunda

Palamenti olweggulo lwa leero esuubirwa okukakasa Dr.Ruhakana Rugunda  ku bwa ssabaminisita bw’eggwanga.

Rugunda yalondebwa pulezidenti Museveni olwokutaano oluwedde nga yazze mu bigere bya  Amama Mbabazi .

Rugunda y’abadde minisita w’ebyobulamu nga yye ekifo kye tekinafunibwamu musika.

 

Akawayiro namba  108  mu ssemateeka kakilambika nga omuntu alondeddwa ku bwa ssbaminisita bweyeteega ababaka abasamusaamu okumukakasa ku kifo kino.

Leave a comment

0.0/5