Amawulire
Abasomesa batabuse
Ekibiina ekigatta abasomesa kitegeezeza nga bwekitagenda kwetaba ku mukolo ogw’okuggulawo kibiina ky’obwegassi eky’abasomesa nga bano bagamba nti abategese emikolo gyino bagala kuwudiisa omukulembeze w’eggwanga.
Kinajukirwa nti minisituke y’ebyenjigiriza etegese okukyaaza omukulembeze w’eggwanga okuggulawo ekibiina ekigenda okufuna ezimu ku nsimbi obuwumbi obutaano pulezidenti zeyasuubiza abasomesa
Akulira omukago gw’abasomesa James Tweheyo ,atubuulidde nti basazeewo okwebalama entekateeka zonna , kubanga minisitule esazeewo okuyisa ensimbi mu kitongole kya gavumenti eky’obwegassi nga bano baba babajjako amagoba
Tweheyo agamba nti obukadde 700zeezimaze okukozesebwa
Wabula yyo minisitule ekola ku by’enjigirizza erudde rudde ng’etegeeza ng’abasomesa bwebatalina bukugu bukozesa nsimbi nga zino, ssonga ssi buli musomesa nti ali mu UNATU.