Amawulire
Abazirwanako basenguddwa
Abasuubuzi abakolera egyabwe mu katale kaba nazilwanako ku luguudo lwa Kafumbe Mukasa gebakaaba gebakomba oluvanyuma lw’okufuumulwa mu kifo ekyo.
Bawanyondo ba kkooti mu bukuumi obw’ekitalo bazinzeeko akatale kano nebamenya obuyumba bwonna n’emidaala egyatekebwawo abasuubuzi.
Ekifo kino kigambibwa okuba nti kya mugagga John Bosco Muwonge.
Poliisi ekulembeddwamu akulira ebikwekweto mu bukiika kkono bwa Uganda Samuel Omala nga era abaserikale bakyagumbye mu kifo kino.