Amawulire
Kkooti terina ssente
Kkooti y’amaggye ekyalemereddwa okuddamu okuwozesa abe kasese ng’obuzibu ssente
Kkooti eno ebadde erina okuwulira emisango gy’abantu 54 agambibwa okuvaako ekitta bantu e Bundibuggyo kyokka nga ssibwekibadde olw’ebbula ly’ensimbi.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Rwenzori Capt. Ceaser Olweny agamba nti bategeezeddwa kkooti nti bakyanoonya nsimbi nga tebannaddamu kuwozesa bantu bano
Bano beebamu ku basoba mu 100 abakwatibwa ku byekuusa ku bulumbaganyi obwaali mu disitulikiti ye Kasese, Bundibugyo ne Ntoroko.