Amawulire
Ab’ekalangala babanja kidyeri
Abatuuze mu disitulikiti ye Kalangala bavudde mu mbeera olw’ekidyeri kyabwe ekya MV Kalangala, okumala akaseera nga kifu .
Ekidyeri kino kyatwalibwa e Mwanza mu ggwanga lya Tanzania okukanikibwa kati emyezi gikoonye 9 nga tekinadda.
Abatuuze bano kati bekubidde enduulu eri minisitule y’ebyentambula nga baagala ebanyonyole lwaki ekidyeri kino tekitambula.
Abatuuze bano babadde mu lukiiko olukubiriziddwa omubaka wa pulezidenti e Kalangala Caleb Tukaikiriza.