Amawulire
Abayizi be makerere beekalakaasizza- babiri balumiziddwa
Abayizi 2 beebalumiziddwa nga poliisi erwanagana n’abo abakedde okwekalakaasa ku yunivasite y’e Makerere.
Bano beebamu ku balumbye ekizimbe okutuula abaddukanya ettenedekero lino nga bawakanya eky’okwongeza ebisale by’okutikirwa okuva ku mitwalo 9 okutuuka ku 22.
Mu ngeri yeemu abakulira ettendekero lino batudde n’abakulu b’abayizi okumalawo akaleega bikya kano.
Yye aduumira poliisi mu bukiika kkono bwa Kampala Samuel Omara asabye abayizi okwewala okukola effujjo wabula okwemuluguya kwabwe bakumalewo nakuteesa.
Kati akafubo wakati w’abakulembeze b’ettendekero n’abayizi kagenda mu maaso kyokka ng’abayizi bakyagenda mu maaso n’okwezooba ne poliisi.