Amawulire

Aba pioneer babawaabye

Ali Mivule

October 21st, 2014

No comments

Baingana

Babiri ku baali baddukanya kkampuni ya Pioneer easy Bus bakubiddwa mu mbuga za mateeka lwa mabanja.

Eyabawola muyindi ategerekese nga Arvind Partel ng’ono ababanja obukadde 75.

Ng’ayita mu balooya be aba Kaggwa and Kaggwa advocates, Patel agamba nti mu mwaka gwa 2009, yawa David Baingana ne Fred Ssenoga ebbanja lya bukadde 75 nebasingayo baasi era nga balina okusasula mu myezi ena

Wabula ono agamba nti bano buli lunaku bamubuzabuuza era nga kati ky’avudde asalawo okugenda mu kkooti

Omusajja ono ayagala abakulu bano bamusasule ensimbi zonna z’abanja nga kw’otadde n’ensimbi z’ayonoonye okugoba omusango n’okubabanja