Amawulire
Mukomye enkayaana mu bika- Katikkiro
Katikiro wa Buganda Owek. Charles Peter Mayiga alabudde abakulu b’ebika okwewala okutondawo ennono wamu n’obukulembeze obutagoberera bwa buwangwa bwa Buganda.
Katikiro okwongera bino abadde mu lukiiko lwa Buganda E mengo,gy’asinzidde n’ategeeza abakulu b’ebika nti Ssabasajja Kabaka yasalawo eky’enkomeredde ku bukulembeze bw’ebika.
Katikiro agamba nti abakyalina okwemulugunya bakutwale mu ofiisi ye.
Kamalabyonna era ategeezezza ng’akakiiko akateekebwawo okukulakulanya enyanja lya Kabaka esangibwa mu Ndeeba bwekalina okuwa alipoota yaako obutasuka omwezi ogw’okuna omwaka ogujja.
Katikiro ategeezezza obuganda ng’enyanja eno bweri mu katyabaga olw’abantu abagiriranye okusuulamu kasasiro, kazambi wamu ne oil mu mazzi g’enyanja ekiviiridde ko eby’enyanja okuffa.