Bya Ivan Ssenabulya.
Oluvanyuma lw’abanna FDC okuwangula okulonda kw’e Jinja East ekyaletedde NRM okutegeeza nga bwegenda mu kooti, bo banna-DP babasabye obutamala budde kugenda mwebyo kuba tebalina bujulizi bwonna.
Kinajukirwa nti munna- NRM Igeme Nabeeta yakubwa bubi nyo mu kalulu akaaliwo sabiiti ewede, era muna FDC Paul mwiru n’alangirirwa, kyoka ssabwandiisi w’ekibiina Justine Kasule Lumumba nategeeza nga bwebatamatidde era nga bagenda mu kooti.
Kati bwabade ayogerako ne banamawulire, ayogerera ekibiina kino Kenneth Paul Kakande agambye nti kuno bakuyita kumala budde NRM egwana ekkirize nti ebyakalulu byagaana
