Bya Abubaker Kirunda.
Mu district ye Iganga agavaayo galaga nga abantu 4 bwebafudde, n’abalala musanvu nebabuuka n’ebisago, nga kino kidiridde akabenje okugwa mu district eno.
Kano akabenje kagudde wano ku kyalo Namasoga ku luguudo olugatta Igang-Jinja.
Kano akabenje kagudewo oluvanyuma lwa takisi number UBA 343B ebadde eva e Kampala nga ebade edda Mbale okukonagana ne Fuso namba UAA 124Q ebadde edda e Kampala.
Ayogerera police yobuvanjuba bwa Busoga James Mubi agambye nti kano akabenje okugwawo kidiridde owa Fuso okugezaako okuyisa tuleera, wakati mukavuyo n’eyambalagana ne takisi bwenyikubwenyi.
Mukaseera kano e mirambo gitwaliddwa mu dwaliro e Nakavule ne Jinja, songa abalwadde bakyali mukujanjabibwa.