Skip to content Skip to footer

Okulonda abanajjuza olukiiko lwa KCCA

Kiggundu

Okulonda abakiise b’ebitongole by’abakugu nakwo kukubye koodi nga buli kimu kiwedde

Bano abawerera ddala bana bagenda kulondebwa olunaku lw’enkya okutuuka ku lukiiko lwa KCCA olwo lube nga lujjuvu bulungi era nga ssinga lutuula luba lusobola okugoba loodimeeya

Amyuka omwogezi w’akakiiko akalondesa, Paul Bukenya agamba nti okulonda kuno kugenda kuyita mu kkolegi ng’abantu 12 beebakajjayo foomu okwewandiisa.

Mu bibiina by’abakugu ebirina okuwaayo abantu mwemuli abakubi ba pulaani, ba enginiya,abasawo ne bannamateeka

Leave a comment

0.0/5