Amawulire
Aba Taxi baggaliddwa
Abagoba ba taxi abawerera ddala bataano basindikiddwa ku mere e Luzira lwakutikkira mu bifo bikyaamu.
Balabiseeko mu maaso g’omulamuzi wa kkooti ya City hall Moses Nabende oluvanyuma lw’okwegaana emisango.
Egibavunaanibwa gya kweyisa mu ngeri embi nga bayita n’okutikkira abasabaaze mu bifo ebikyaamu
Okusinzira ku ludda oluwaabi, bano bakwatibwa okuva ku nguudo ezitali zimu wano mu kampala.
Bakuddizibwa mu kkooti nga 11 omwezi ogujja , nga n’omusango gwaabwe lwegunawulirwa