Skip to content Skip to footer

Aba Taxi baggaliddwa

Nsambya park

Abagoba ba taxi abawerera ddala bataano basindikiddwa ku mere e Luzira lwakutikkira mu bifo bikyaamu.

Balabiseeko mu maaso g’omulamuzi wa kkooti ya City hall Moses Nabende oluvanyuma lw’okwegaana emisango.

Egibavunaanibwa gya kweyisa mu ngeri embi nga bayita n’okutikkira abasabaaze mu bifo ebikyaamu

Okusinzira ku  ludda  oluwaabi,  bano  bakwatibwa  okuva  ku  nguudo ezitali zimu wano mu kampala.

Bakuddizibwa mu kkooti nga 11 omwezi ogujja , nga n’omusango gwaabwe lwegunawulirwa

Leave a comment

0.0/5