Skip to content Skip to footer

Ogwa Godi gwa December

MP akbar Godi

Kkooti y’okuntikko mu ggwanga etaddewo olunaku lwa nga lumu December okuwulira okujulira okwakolebwa omubaka Akbar Godi ku by’okusingisibwa omusango gw’okutta mukyala.

Godi yaweebwa ekibonerezo kya myaka 25 lwakutta mukyala we Rehma Ceasar

Godi aawakanya ekibonerezo ekyamuweebwa n’okusingisibwa omusango.

Godi yaddukira mu kooti ejulirwaamu eyalemezaawo ekibonerezo ekyamuweebwa kkooti enkulu nga kati asazeewo kugenda mu kkooti y’okuntikko

Omulambo gwa mukyala we gwasangibwa ku kyaalo Lukojjo e Mukono mu mwaka gwa 2008

Leave a comment

0.0/5