Amawulire

PLE atandise- awamu bakereeye

Ali Mivule

November 3rd, 2014

No comments

exams delay

Nga ebigezo by’ekibiina eky’omusanvu ebyakamalirizo bikyagenda maaso,waliwo omusomesa akwatiddwa poliisi y’e Nateete ku bigambibwa nti yabbidde abayizi ebibuuzo.

Ono  nga musomesa ku ssomero erimu e Nateete  kigambibwa nti ekiro y’asangiddwa nga asomesa abayizi n’empapula ezigambibwa okubeerako  ebibuuzo byenyini ebituuliddwa amakya galeero.

Nga ayogerako nebannamawulire amakya galeero, omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano  Patrick Onyango agamba omusomea ono akyakumibwa ku poliisi nga okunonyereza bwekukyagenda maaso.

Ate Mu disitulikiti ye  Pader  abalina obulemu ku mibiri gyaabwe bibasobedde.

Waliwo omuyizi w’essomero lya  Paipir Primary school nga muzibe asigadde nga bimusobedde lwabutaba na mutaputa nga banne batuula ebigezo bino.

Okusinziira ku Mukulu w’essomero lino  Poline Lanyero baasindika dda okusaba kwabwe okufuna omutaputa w’omwana ono eri ekitongole ky’ebyebigezo ekya UNEB wabula tebaddibwangamu.

Kati akola ku bantu abali mu kiti ekyenjawulo mu ofiisi y’akulira ebyenjigiriza mu disitulikiti eno  Margret Lanyero ategezezza nga bwebanonyezza omutaputa okuyamba omwana ono naye nga mpaawo gwebaafunye.