Amawulire
Panadol w’abasajja bimutabukidde
Omuyimbi Jemimah Kansiime eyakazibwaako Panadol wa Basajja ebintu byongedde okumwononekera, oluvanyuma lw’omulamuzi okumuzzaayo ku alimanda e luzira
Kinajjukirwa nti Kansiime omwezi oguwedde yavunaanibwa n’omukwasi w’enyimba Didi Mugisha eyatanzibwa emitwalo 20 nga kanaluzaala yava ku luyimba lweyatuuma Nkulinze , olugambibwa okubaamu ebikolwa ebyekiseegu ebitagambika.
Ono olwaleero alemereddwa okuleeta abantu abamweyimirira ku musango gw’okwolesa obuseegu era omulamuzi Richard Mafabi kwekusalawo okumuzza ku alimanda e Luzira .
Oludda oluwaabi lugamba nti Mugisha ne Kansiime baayolesa obugwenyufu n’obuseegu mu luyimba luno olwasasanyizibwa eri bannayuganda.
kakati ono waakuda mu kkooti nga 2 December.