Amawulire

Ensonga z’omwana afiiridde ku KCCA zirinnye enkandaggo

Ali Mivule

November 19th, 2014

No comments

Woman loses child

Minisita wa kampala Frank Tumwebaze avuddemu omwaasi ku nsonga z’omwana ayalinnyiddwa emmotoka ku KCCA.

Tumwebaze ategeezezza nga bw’alagidde aduumira poliisi Gen Kale Kaihura okunonyereza ku nsonga eno era aveeyo ne alipoota , enasinzirwako okubonereza abalagajjalidde emirimu.

Ono agamba nti okukwasisa amateeka mu kibuga kikulu naye nga kirina okukolebwa mu ngeri ey’obuvunanyizibwa.

Agenze mu maaso n’ategeeza nti  waliwo omuwaatwa mu by’okwerinda ku KCCA ng’omwana bandibadde bamulaba

Ggo amaloboozi agavumirira ekikolwa kino geyongera nga Loodimeeya agamba nti kino kiraze nti waliwo ekikyaamu mu ngeri abasirikale ba KCCA gyebakolamu emirimu gyaabwe

Lukwago agamba nti abasirikale bano bayitiriza obukambwe newekitetaagisa nga balina okukolebwaako.

Omukyala ono Madina Namutebi owe Masajja yakwatiddwa lwakutunda miyembe ku Container Village kyokka nga bweyazze ku kkooti, yagaaniddwa okubeera n’omwana we.

Omwana ono mu kunoonya nyina yayingidde wansi w’emipiira gy’emotoka eyamulinnye era teyazzeemu