Ssabawaabi wa gavumenti alonze bannamateeka bataano okukola ku musango oguvunaanibwa abagambibwa okutega bbomu mu mwaka gwa 2010.
Ekibinja kino kyakukulemberwa omukyala Suzan Okalany okuzibikira ebituli ebyalekebwa omukyala Joan Kagezi eyakubwa amasasi ng’adda ewaka n’afa
Olukiiko olubalonze lukubiriziddwa omulamuzi Alphonse Owinydollo nga kati gwo omusango gwakuwulirwa nga 8th omwezi ogujja
Abavunaanibwa 12 kigambibwa okuba nti beebatega bbomu ku Kyaddondo rugby grounds ne Ethiopian village restaurant nga zino zaaleka abantu 70 nga bafudde
Ku bano kuliko bannakenya 7 Kenyans, 4 bannayuganda ne munnansi wa Tanzania omu
Mu ngeri yeemu
Ab’ekitongole ekiramuzi bakoze enkyukakyuka mu by’okwerinda nga kati abalamuzi bonna bakukuumibwanga poliisi ekuuma abakulu
Bajja kubeera ne poliisi era ekuuma amaka gaabwe era nga bonna batendekeddwa mu ngeri y’okulwanyisaamu obutujju
Omukungu mu kitongole ekiramuzi Solomon Muyita agamba nti bino byonna bigendereddwaamu kunyweeza bya kwerinda nga mu ngeri yeemu nebannamawulire bakuwandiisibwa buto okumanya abagasaka okuva mu kkooti