Skip to content Skip to footer

Basajjabalaba asindikiddwa e Luzira

bassajja remanded

Munnabyabusuubuzi Hassan Basajja Balaba asindikiddwa ku alimanda e Luzira

Kiddiridde kooti ekola ku gy’obukenuzi okusazaamu okweyimirirwa kwe omusango gwe n’egusindika mu kooti enkulu.

Basajjabalaba avuunanibwa wamu ne muto we Muzamir Basajjabalaba nga bano babalanga kwepema misolo, okujingirira ekiwandiiko kya kooti n’okukozesa ebiwandiiko ebikyaamu.

Omulamuzi wa kooti ekola ku gy’abalabbayi, Irene Akankwasa y’asazizzaamu okweyimirirwa kwa Basajja bw’atyo n’amusindika e Luzira okutuusa emisnago gya kooti enkulu lweginaddamu okuwulirwa

 

 

Leave a comment

0.0/5