Skip to content Skip to footer

10 battiddwa

Abantu 10 beebafudde omusajja atannategerekeka bwalumbye baala n’asasirira abantu amasasi.

Omwenda bafiiriddewo mbulaga ate omulala n’afa nga batuuka egogonya mu ddwaliro

Mu bafudde mwemuli Nanyini Baala ategerekesenga Maama Jackie, Sarah Akot, mukyala Odere, Private Kennedy, Isaac Osere, Musana n’abalala

Abantu abalala 2 bakyajjanjabibwa mu ddwaliro e bombo kyokka nga nabo bali mu mbeera mbi ddala

Amyuka omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Vincent Ssekate agamba nti omusajja eyakoze ekikolwa kino tennategereekak oba mujaasi oba mukuumi nga n’ekigendererwa kye tekinnamanyika

Sekatte agamba nti ebbaala eyattiddwaamu abantu eri mu katale akamanyiddwa nga Bombo central market nga kano eyabadde akakuuma naye teyalutonze

 

 

 

Leave a comment

0.0/5