Amawulire
ababadde bakecula abakyala bakwatiddwa
Poliisi mu disitulikiti ye Bukwo eriko abakazi 3 b’ekutte nga bakomola abawala mu bitundu byabwe eby’ekyama ekintu ekikontana n’amateeka g’eggwanga.
Aduumira poliisi mu kitundu kino Alfred Baluku akakasizza okukwatibwa kw’abasatu bano oluvanyuma lw’okutyem,ezebwako abalwanyisa obuzzi bw’emisango mu kitundu kino abaatendekebwa okubaguliza ku poliisi ku misango gyonna.
Ono era ategezezza nga bwebakutte n’abawala 2 ababadde bamaze okukekejulwa mu bubba era n’alabula nga yadde bwekiri mu buwangwa bw’abantu mu kitundu kino, kimenya mateeka okukomola abaana b’obuwala mu mbugo.
Mu mwaka gwa 2010 gavumenti yayisa etteeka eriwera okukomola abawala nga agwegukka mu vvi asibwa emyaka egitasukka 10.