Amawulire
Ab’omuliro bafunye obuyambi-abalala balinze mirambo
Gavt etuukirizza ekisuubizo kyokuliyirira abo abajiiride mumuliro e namungoona oluvanyuma lwekimotoka kyamafuta okwabika.
Abantu 13 bebakafuna obukadde 5 kwaabo 52 abalina okuliyirirwa ensimbi zino.
Omukungu okuva mu maka gomukulembeze weggwanga Ruth Nakyobe agamba abo abfiira mumuliro guno, bazadde baabwe bebagenda okuweebwa sente zino oba abenganda zaabwe abalala.
Eddwaliro ly’emulago elikola ku muliro lyetaaga obukadde 100 okujjanjaba omuntu omu mu saabiiti emu yokka
Okusinziira w’akulira eddwaliro lino Robert Ssentongo, eddagala lyebakozesa ku b’omuliro lya beeyi nnyo nga n’abakozi beebalina batono ddala.
Ono owkogera bino abadde alambudde abantu abakoseddwa omuliro e Namungoona abali mu kujjanjabibwa emulago
Mulago Hospital Burns Unit requires upto 100m Ono agambye nti beetaga abasawo abayambako abali wakati w’abana n’omunaana buli lunaku naye nga kati tebaliiwo.
Dr Ssentongo kyokka era yeeralikiriddde
Yye akulira oludda oluvuganya gavumenti Nandala Mafaabi naye akyalidde ku bantu bano n’asuubiz aowkongerayo omulanga gwa Dr Sentongo gw’okwongera ku nsimbi eziweebwa eddwlairo ly’omuliro
Mafaabi era asabye Dr Ssentongo okussa okusaba kwaabwe mu butongole mu saabiti emu kuteesebweeko mu palamenti
Ebyo nga bili bityo, kyadaaki ab’enganda abalwanirira omulambo bakkiriziganyizza okugulekayo.
Omukyala obwedda alumiriza nga bw’amanyi ebigere bya bba, Joseph Ntale kyokka ng’abe waabwe bawakana