Amawulire
Etteeka ku bisiyaga likomyeewo
Kawefube w’okuzza etteeka ku bisiyaga akomyeewo mu palamenti
Ababaka abakulembeddwaamu owe kawempe mu bukiikakkono Latif Ssebaggala atandise okwekengera ensonga lwaki etteeka lino likyagaanye okudda
Ssebagala agamba nti bakungaanye emikono egisoba mu 250 era nga bategese okuyisa etteeka lino libeere ekirabo eri bannayuganda ekya kulisimaasi
Ono wabula ayagala sipiika wa palamenti abanyonyole etteeka lituuse wa n’okumanya akakiiko akassibwaawo okuwetegereza etteeka kali ku ki
Etteeka lino lyasazibwaamu oluvanyuma lw’abaliwakanya okuddukira mu kkooti nga bagamba nti lyayisibwa mu bukyaamu