Amawulire
Eby’omukozi bikutte ekkubo eddala- ebyasooka bifu
Omusango gw’omukozi eyatulugunya omwana wa mukamawe n’agukkiriza guzzemu obungodiila .
Omusango gwa Jolly Tumuhiirwe kati gujuluddwa okuva mu kkooti ya City hall ne gudda mu ya Buganda Road.
Omuwaabi wa gavumenti Miriam Njuki ategezezza nga fayilo y’omusango guno bweyasindikiddwa mu kkooti ya Buganda Road era wano omulamuzi wa kkooti ya City hall Moses Nabende ataddewo nga 15 December omwaka guno okuddamu okuwulira omusango guno.
Tumuhiirwe omusango y’agukkiriza ku Mande n’asaba bazadde b’omwana bamusonyiwe nga kwogasse bannayuganda bonna ne kkooti.
Jolly Tumuhirwe 22 y’alabikira mu katambi nga akuba wamu n’okusottasotta omwana ono oluvanyuma lw’okumukaka okulya.