Amawulire
Abamenyi b’amateeka bakwatiddwa
Poliisi e Luweero ekutte abantu 17 lwakwetaba mu bikolwa bya bumenyi bwa mateeka.
Bano bayooleddwa mu kikwekweto ekikoleddwa ng’ennaku enkulu zijja zisembera.
Ekikwekweto kino kikoleddwa mu kibuga kye Ngoma mu disitulikiti ye Nakaseke .
Kino kiddiridde obubbi bw’ebisolo, emmere n’obunyazi obwabulijjo.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Savannah Lameck Kigozi agamba nti ebikwekweto bino byakugenda mu maaso.