Amawulire
Zziwa agobeddwa kubwa sipiika
Ababaka abatuula mu Parliament ya East Africa olunaku olwaleero batudde ,nebasalawo okugya obwesige mu sipiika wa parliament eno Margret Nantongo Zziwa.
Bano okutuula kidiridde kooti ya East Africa okubawa olukusa olunaku olweggulo okugenda mumaaso n’olutuula luno, newankubade Nantongo yabade aluwakanya.
Mulutuula luno, ababaka beesibye kunsonga yaabunafu bwa ziwa, kko n’okukozesa obubi office .
Tukitegedeko nti Ziwa okugobwa yye tabadeewo, wabula nga gweyavuganya naye Dorah Byamukama yasoose okusuula akululu akamugyamu obwesige , olwo nadirirwa munna-DP Fred Mukasa Mbidde.
Kinajukirwa nti ensonga za Zziwa zaviira dala mabega nga 17th November, ababaka bano bwebatuula mukibuga Nairobi ekya Kenya ,nebasindika ziwa muluwumula olw’enaku 21.