Amawulire
Taata asobezza ku muwalawe
Waliwo omusajja omulala akwatiddwa e Lwengo lwakusobya ku mwana omujja na nyina nga waakayita lumu lwokka nga waliwo omusajja eyakoze kyekimu.
Akwatiddwa mutuuze wokukyalo Lubanda nga ono aliko akawala ak’emyaka 4 kaamaliddeko ejjakirizi nga maama w’omwana ono yeyamulonkomye ku poliisi n’akwatibwa.
Okusinziira ku maama w’omwana ono, ssedduvuutu ono y’akozesezza akakakisa nga ali mu nnimiro nakkakana ku kawala ke n’akatunuza mu mbuga ya sitaani.
Kati omwogezi wa poliisi mu bitundu bino Noah Sserunjoji akakasizza kino n’ategeeza nga bwebagenda okutwala omwana ono akeberebwe oba teyasiigiddwa siriimu.